×

OBW’ETTEEKA BW’OKUGOBERERA SUNNAH NABBI N’OKUKAAFULA KW’OYO AZITAMWA (Luganda)

mu nteekateeka: حافظ بن أحمد الحكمي

Description

Ekitabo kino kyekimu kubitabo ebivvunule mu munkola empya eya islamhouse, era nga kivvunula ekitabo ekirina omutwe ogugamba nti “Obwetteeka bw’okugoberera sunnah za Nabbi n’okukaafuwala kw’oyo azitamwa” ekya Shk. Ibun Baazi, mu lulimi oluganda

Download Book

OBWETTEEKA BW'OKUKOLERA KU SUNNAH Z'OMUBAKA N'OKUKAFUWALA KW'OYO AZITAMWA

وجوب العمل بسنة الرسول وكفر من أنكرها

EBIFA KU KITABO KINO

Ekitabo kino kyekimu kubitabo ebivvunule mu munkola empya eya islamhouse, era nga kivvunula ekitabo ekirina omutwe ogugamba nti “Obwetteeka bw'okukolera ku sunnah za Nabbi –okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'okukaafuwala kw'oyo azitamwa" ekya Shk. Ibun Baazi, mu lulimi oluganda, eranga kinnyonnyola emisingi okuzimbiddwa eddiini y'obusiraamu

Ennyanjula

الحمد لله رب العالمين، والعاقبة للمتقين والصلاة والسلام على عبده ورسوله نبينا محمد المرسل رحمة للعالمين، وحجة على العباد أجمعين وعلى آله وأصحابه الذين حملوا كتاب ربهم سبحانه وسنَّة نبيهم -صلى الله عليه وسلم- إِلى من بعدهم، بغاية الأمانة والإتقان، والحفظ التام للمعاني والألفاظ - رضي الله عنهم وأرضاهم - وجعلنا من أتباعهم بإِحسان. أما بعد:

فقد أجمع العلماء قديمًا وحديثًا على أن الأصول المعتبرة في إِثبات الأحكام، وبيان الحلال والحرام في كتاب الله العزيز الذي لا يأتيه الباطل من بين يديه ولا من خلفه, ثم سنَّة رسول الله - عليه الصلاة والسلام - الذي لا ينطق عن الهوى إِن هو إِلا وحي يوحى،, ثم إِجماع علماء الأمة، واختلف العلماء في أصول أخرى أهمها القياس وجمهور أهل العلم على أنه حجة إِذا استوفى شروطه المعتبرة,

Amatendo ga Allah Omulezi w'ebitonde byonna, N'enkomerero (ennungi) eri abo abatya Allah, Okusaasira n'emirembe bibeere eri omuddu we era Omubaka we Nabbi waffe Muhammadi eyatumwa nga kyakusaasira eri ebitonde byonna, era nga tekyali kwekwasa eri ebitonde byonna oluvannyuma lw'okutumwa kwe, N'eri abantu be, ne baswahaaba be abo abeetikka ekitabo ky'Omulezi waabwe owekitiibwa, ne sunnah (hadiith) za Nabbi waabwe -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- okutuuka kwabo abajja oluvannyuma lwabwe, n'obwesigwa obwekika ekyawaggulu, n'obukugu, n'okukuuma okujjuvu eri amakulu n'enjatula yaabyo -Allah yasiima kubo bonna nabo ne bamusiima- era musaba atusse mwabo ababagoberera mubulungi, Oluvannyuma lw'ebyo byonna:

Mazima abamanyi okuva edda n'olwaleero begatta n'ebagamba nti ebikolo ebyesigamiziddwako okuyimirizaawo n'okukakasa amateeka, n'okunnyonnyola ebikkirizibwa n'ebitakkirizibwa (biri) mu kitabo kya Allah owekitiibwa ekyo ekitatuukibwako bukyamu bwonna nga buva mu maaso gakyo oba emabega wakyo Oluvannyuma Sunnah (hadiith) za Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- oyo atayogera nga ajja ku kwagala kwe okujjako bubaka obussibwa kuye- Oluvannyuma okwegatta kw'abamanyi ba Ummah eno, wabula ate abamanyi bayawukana ku bikolo ebirala nga ekisinga mubyo kwekugerageranya (qiyaasi) nga abamanyi abasinga obungi bagamba nti kwesigamizibwako ennamula singa kutuukiriza obukwakkulizo obwetaagisa.

والأدلة على هذه الأصول أكثر من أن تحصر وأشهر من أن تذكر:

الأصول المعتبرة في إِثبات الأحكام

era obujulizi ku bikolo bino bungi tebubalika era bumanyifu nebwebubanga tebwogeddwako: Ebikolo ebyesigamizibwako mu kuyimirizaawo amateeka:

الأصل الأول: كتاب الله العزيز,

Ebikolo ebyesigamizibwako mu kuyimirizaawo amateeka:

أما الأصل الأول: فهو كتاب الله العزيز, وقد دل كلام ربنا -عز وجل- في مواضع من كتابه على وجوب اتباع هذا الكتاب والتمسك به والوقوف عند حدوده.

Ekikolo ekisooka: Ekitabo kya Allah ekyekitiibwa (Qura'an) Naye kyo ekikolo ekisooka: Ekitabo kya Allah ekyekitiibwa Bijuliza kukyo ebigambo bya Allah owekitiibwa mu bifo ebyenjawulo okuva mukitabo kye nga biraga obwetteeka bw'okugoberera ekitabo kino n'okukyekwatako n'okukoma (n'okuyimirira) kunsalosalo zakyo

ﭧ ﭨ ﭽ اتَّبِعُوا مَا أُنزِلَ إِلَيْكُم مِّن رَّبِّكُمْ وَلَا تَتَّبِعُوا مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءَ ۗ قَلِيلًا مَّا تَذَكَّرُونَ الأعراف: ٣

Allah yagamba:

{ Mugoberere ebyo ebyassibwa gyemuli nga biva eri mukama wammwe, temugobereranga omulala atali Ye, Mujjukira kitono} (Araaf 3)

و ﭧ ﭨ ﭽ وَهَذَا كِتَابٌ أَنْزَلْنَاهُ مُبَارَكٌ فَاتَّبِعُوهُ وَاتَّقُوا لَعَلَّكُمْ تُرْحَمُونَ ﭼ الأنعام: ١٥٥

Era Allah yagamba:

{ Nakino Ekitabo (Qura'an) twakissa nga kya mukisa, kale mukigoberere era mutye Katonda, mulyoke musaasirwe} (An'aami 155)

و ﭧ ﭨ ﭽ ﭬ ﭭ ﭮ ﭯ ﭰ ﭱ ﭲ ﭳ ﭴ ﭵ ﭶ ﭷ ﭸ ﭹ ﭺ ﭻﭼ ﭽ ﭾ ﭿ ﮀ ﮁ ﮂ ﮃ ﮄ ﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ ﮋ ﮌ ﮍ ﮎ ﮏ ﮐ ﮑ ﮒ ﮓ ﮔ ﮕ ﮖ ﮗ ﭼ المائدة: ١٥ – ١٦

Era Allah yagamba:

{Mazima abajjidde Omubaka waffe (Muhammad) abannyonnyole mmwe ebingi mw'ebyo bye mukweka ebiri mu Kitabo, era alekere bingi: Mazima ekitangaala kibajjidde okuva eri Katonda n'Ekitabo ekyeyolefu (Qura'an)** Katonda alunngamya nakyo omuntu agoberera okusiima kwe eri amakubo ag'emirembe, N'abaggya mu bizikiza okubalaza eri ekitangaala olw'okwagala kwe, n'abalunngamya eri ekkubo eggolokofu } (Maaida 15 -16)

و ﭧ ﭨ ﭽ إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِٱلذِّكۡرِ لَمَّا جَآءَهُمۡۖ وَإِنَّهُۥ لَكِتَٰبٌ عَزِيزٞ - لَّا يَأۡتِيهِ ٱلۡبَٰطِلُ مِنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَلَا مِنۡ خَلۡفِهِۦۖ تَنزِيلٞ مِّنۡ حَكِيمٍ حَمِيدٖ ﭼ فصلت: ٤١ – ٤٢

Era Allah yagamba:

{Mazima abo abawakanya Qura'an ey'ekitiibwa g'emaze okubajjira (tubalaba era bagenda kubonyabonyezebwa), Mazima kyo kitabo kya kitiibwa ** Tebugenda kugituukako obwonoonefu nga bufuluma mu maaso gayo oba wadde okufuluma emabega waayo (mazima yo) yakka nga eva eri Omukakasa w'ebigambo, Atenderezebwa} (Fussilat 41-42)

و ﭧ ﭨ ﭽ قُلۡ أَيُّ شَيۡءٍ أَكۡبَرُ شَهَٰدَةٗۖ قُلِ ٱللَّهُۖ شَهِيدُۢ بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡۚ وَأُوحِيَ إِلَيَّ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانُ لِأُنذِرَكُم بِهِۦ وَمَنۢ بَلَغَۚ أَئِنَّكُمۡ لَتَشۡهَدُونَ أَنَّ مَعَ ٱللَّهِ ءَالِهَةً أُخۡرَىٰۚ قُل لَّآ أَشۡهَدُۚ قُلۡ إِنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ وَإِنَّنِي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تُشۡرِكُونَ ﭼ الأنعام: ١٩

Era Allah yagamba:

{Eweereddwa (essiddwa) gyendi eno Qura'an ndyoke mbalabule nayo n'omuntu yenna gw'eba etuuseeko} (An'aami 19)

و ﭧ ﭨ ﭽ هَٰذَا بَلَٰغٞ لِّلنَّاسِ وَلِيُنذَرُواْ بِهِۦ وَلِيَعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ وَلِيَذَّكَّرَ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﭼ إبراهيم: ٥٢

Era Allah yagamba:

{Kuno kwe kutuusa obubaka eri abantu era (balyoke) batiisibwe nakyo} (Ibrahiimu 52)

والآيات في هذا المعنى كثيرة وقد جاءت الأحاديث الصحاح عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- آمرة بالتمسّك بالقرآن والاعتصام به دالة على أن من تمسك به كان على الهدى ومن تركه كان على الضلال

Ne a'ya (ezajja) ku makulu ago mpitirivu era mazima ne hadiith entuufu zajja okuva ku Mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga ziragira okwekwata ku Qura'an n'okugyenywerezaako, ziraga nti mazima yenna agyekwatako abeera ku bulunngamu era yenna agireka abeera ku bubuze

ومن ذلك ما ثبت عنه -صلى الله عليه وسلم- أنه قال في خطبته في حجة الوداع: " إِنِّي تاركٌ فيكُمْ مَا لَنْ تضلوا إِن اعْتَصَمْتُمْ بِهِ كِتَابَ اللهِ" رواه مسلم في صحيحه.

nga mubwo ye (hadiith) enkakafu okuva ku Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba mu hijja ye eyasiibula nti: “Mazima ndese mummwe ekitabo kya Allah (Qura'an) ebbanga lyemunaamala nga mukyekutteko temugenda kubula" yayogerwa Muslim mu swahiih ye.

وفي صحيح مسلم أيضا عن زيد بن أرقم -رضي الله عنه- أن النبي -صلى الله عليه وسلم- قال: إِنِّي تارك فِيكُمْ ثِقْلَين أَوَّلهُما كِتابُ الله فيهِ الهُدَى والنُّور فَخُذوا بِكتَابِ اللهِ وَتَمَسّكُوا بِهِ"

فحث على كتاب الله ورغب فيه ثم قال: وَأَهْلُ بَيْتي أذَكِّركُمُ الله في أهل بيتي أذكركم الله في أهل بيتي"

وفي لفظ قال في القرآن: هو حبل الله من تمسك به كان على الهدى ومن تركه كان على الضلال" والأحاديث في هذا المعنى كثيرة،

Era mu swahiih Muslim hadiith nga eva ku Zaid bun Ar'qam -Allah yasiima kuye- nti mazima Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba: “Mazima ndese mummwe ebizito bibiri ekisooka kubyo Kitabo kya Allah, kirimu obulunngamu, n'ekitangaala, mukwaate ekitabo kya Allah mukyenywerezeeko" Nakubiriza (okwekwata) ku kitabo kya Allah n'okukyagazisa oluvannyuma nagamba: N'abantu b'ennyumba yange, mbajjukiza kulwa Allah abantu b'ennyumba yange, mbajjukiza kulwa Allah abantu b'ennyumba yange.

Ate munjogera endala yagamba ku Qura'an nti: Gwe muguwa gwa Allah, yenna agwekwatako aba kubulunngamu, n'omuntu yenna aguleka aba kububuze. ne hadiith endala ku makulu ago nkumu.

وفي إِجماع أهل العلم والإِيمان من الصحابة ومن بعدهم على وجوب التمسك بكتاب الله والحكم به والتحاكم إِليه مع سنة رسول الله -صلى الله عليه وسلم- ما يكفي ويشفي عن الإِطالة في ذكر الأدلة الواردة في هذا الشأن.

(N'obujulizi) mu kwegatta kwa bannanyini kumanya n'obukkiriza muba swahaabah n'abo abajja oluvannyuma lwabwe kubwetteeka bwokwekwata ku kitabo kya Allah n'okukiramuzisa n'okudda gyekiri okutulamula wamu ne Sunnah z'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- bumala bumazi obutawaanvuya mukwogera bujulizi obwajja kunsonga eno

الأصل الثاني: ما صح عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وأصحابه ومن بعدهم من أهل العلم والإِيمان,

أما الأصل الثاني: - من الأصول الثلاثة المجمع عليها فهو ما صح عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وأصحاب النبي -صلى الله عليه وسلم- ومن بعدهم من أهل العلم والإِيمان، يؤمنون بهذا الأصل الأصيل ويحتجون به ويعلمونه الأمة، وقد ألفوا في ذلك المؤلفات الكثيرة, وأوضحوا ذلك في كتب أصول الفقه والمصطلح،

Ekikolo ekyokubiri: By'ebyo ebituufu ebyakakata okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ne baswahaaba be n'abo abajja oluvannyuma lwabwe mubannannyini kumanya n'obukkiriza.

Naye kyo ekikolo ekyokubiri: mubikolo ebisatu ebyegattibwako, by'ebituufu ebyakakata okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ne baswahaaba ba Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'abo abajja oluvannyuma lwabwe mubannanyini kumanya n'obukkiriza, bakkiririza mukikolo ekyo ekinywevu era nebesembesa nakyo era nebakisomesa Ummah. Era baatunga kunsonga eyo ebitabo bingi, ne batangaaza kunsonga eyo mu bitabo by'emisingi gya Fiqh (Usuulu alfiqih) ne mubya hadiith.

والأدلة على ذلك لا تحصى كثرة، فمن ذلك ما جاء في كتاب الله العزيز من الأمر باتباعه وطاعته، وذلك موجه إِلى أهل عصره ومن بعدهم لأنه رسول الله إِلى الجميع، ولأنهم مأمورون باتباعه وطاعته حتى تقوم الساعة، ولأنه - عليه الصلاة والسلام - هو المفسر لكتاب الله والمبين لما أجمل فيه بأقواله وأفعاله وتقريره، ولولا السنَّة لم يعرف المسلمون عدد ركعات الصلوات وصفاتها وما يجب فيها، ولم يعرفوا تفصيل أحكام الصيام والزكاة والحج والجهاد والأمر بالمعروف والنهي عن المنكر, ولم يعرفوا تفاصيل أحكام المعاملات والمحرمات وما أوجب الله بها من حدود وعقوبات. مما ورد في ذلك من الآيات

Era n'obujulizi kunsonga eyo tebubalwa nkumu, Mubyo mwemuli obwajja ku kitabo kya Allah ekyekitiibwa nga bulagira okumugoberera n'okumugondera, era nga ekyo kyolekezebwa eri abantu b'omulembe gwe n'abo abajja oluvannyuma lwabwe kubanga ye Mubaka wa Allah eri abantu bonna. N'olwokubanga mazima bbo b'alagirwa okumugoberera n'okumugondera okutuusa enkomerero lweriyimirirawo.

Era lwakuba nti -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ye muvvuunuzi we kitabo kya Allah era omunnyonnyozi webyo ebiba tebitegeerekese bulungi, (nga akozesa) ebigambo bye n'ebikolwa bye n'okukaatiriza / okukkiriza ebyo ebiba bikoleddwa, Era (oluvannyuma lwa Allah) singa sunnah tezajja abasiraamu tebanditegedde muwendo gwa raka'a zeswalah nengeri gyesaalibwamu nabiki ebyetteeka muyo, era tebanditegedde bulambulukufu bwamateeka agafuga okusiiba, ne zakat, ne hijja, ne Jihaad, okulagira empisa ennungi n'okuziyiza empisa embi, Era tebanditegedde bulambulukufu bwamateeka agafuga enkolagana (wakati w'abantu) nabiki Allah byeyalaalikako ebibonerezo mwebyo ebyajja kwekyo ze a'yaati ezenjawulo.

ومما ورد في ذلك من الآيات قوله تعالى في سورة آل عمران:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯼ ﯽ ﯾ ﯿ ﰀ ﰁ ﭼ آل عمران: ١٣٢

Era mugondere Allah n'Omubaka we oba olyawo ne musaasirwa (Aali-imraane 132)

وقوله تعالى في سورة النساء:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯵ ﯶ ﯷ ﯸ ﯹ ﯺ ﯻ ﯼ ﯽ ﯾﯿ ﰀ ﰁ ﰂ ﰃ ﰄ ﰅ ﰆ ﰇ ﰈ ﰉ ﰊ ﰋ ﰌ ﰍﰎ ﰏ ﰐ ﰑ ﰒ ﰓ ﭼ النساء: ٥٩

Nekigambo kya Allah mu surat Nisaai: {Abange mmwe abakkiriza! Mugondere Allah n'Omubaka ne bannanyini Buyinza mu mmwe; bwe mubanga mukaayanye mu kintu, mukizzenga eri Allah n'Omubaka we, bwe mubeera nga mukkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero: Ekyo kye kirungi era ge magoba agasinga obulungi} (Nisaai 59)

وقال تعالى في سورة النساء أيضًا:

ﭽ ﭑ ﭒ ﭓ ﭔ ﭕ ﭖﭗ ﭘ ﭙ ﭚ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭼ النساء: ٨٠

Era Allah nagamba mu surat Nisaai { Omuntu bw'agondera Omubaka aba agondedde Katonda: N'oyo akyuka, tetukutumanga ggwe kubeera mukuumi waabwe} (Nisaai 80)

وكيف تمكن طاعته ورد ما تنازع فيه الناس إِلى كتاب الله وسنَّة رسوله إِذا كانت سنَّته لا يحتج بها أو كانت كلها غير محفوظة، وعلى هذا القول يكون الله قد أحال عباده إِلى شيء لا وجود له , وهذا من أبطل الباطل ومن أعظم الكفر بالله وسوء الظن به،

Era butya bwekisoboka okumugondera n'okuzza ekyo kyonna abantu kyebakaayanyemu eri ekitabo kya Allah ne sunnah z'Omubaka we singa sunnah ze tebazesembesa oba singa zonna ziba tezikuumiddwa era okusinziira ku kigambo ekyo (ekigamba nti sunnah sinkulu era tezesembesebwa nazo mukuyimirizawo amateeka g'eddiini) kiba kitegeenza nti Allah yalagira abaddu okudda eri ekintu ekitaliiwo, songa ekyo kye kikyamu ekisinga era obukaafu obusinga n'okumulowooleza okubi

وقال -عز وجل- في سورة النحل:

ﭧ ﭨ ﭽ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلزُّبُرِۗ وَأَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلذِّكۡرَ لِتُبَيِّنَ لِلنَّاسِ مَا نُزِّلَ إِلَيۡهِمۡ وَلَعَلَّهُمۡ يَتَفَكَّرُونَ ﭼ النحل: ٤٤

Era twassa gy'oli ekyokujjukiza (Qura'an) olyoke onnyonnyole abantu ekyo ekyassibwa gyebali, era oba olyawo ne balowooza (Nahali 44)

وقال فيها أيضًا آية:

ﭧ ﭨ ﭽ وَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا لِتُبَيِّنَ لَهُمُ ٱلَّذِي ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﭼ النحل: ٦٤

Era Allah nagamba muyo: {Tetwassa ku ggwe ekitabo (Qura'an) wabula olyoke obannyonnyole ebyo bye baayawukanamu, era nga kyakulunngama na kusaasira eri ekibiina ekikkiriza} (Nahali 64)

فكيف يكل الله سبحانه إِلى رسوله -صلى الله عليه وسلم- تبيين المنزل إِليهم وسنَّته لا وجود لها أو لا حجة فيها؟

Era butya Allah bweyasigira Omubaka we -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- okunnyonnyola ebyassibwa kuye ne sunnah ze ezitaliiwo oba ezitesembesebwa nazo?

ومثل ذلك قوله تعالى في سورة النور:

ﭧ ﭨ ﭽ قُلْ أَطِيعُوا اللَّهَ وَأَطِيعُوا الرَّسُولَ ۖ فَإِن تَوَلَّوْا فَإِنَّمَا عَلَيْهِ مَا حُمِّلَ وَعَلَيْكُم مَّا حُمِّلْتُمْ ۖ وَإِن تُطِيعُوهُ تَهْتَدُوا ۚ وَمَا عَلَى الرَّسُولِ إِلَّا الْبَلَاغُ الْمُبِينُ ﭼ النور: ٥٤

era nekifaana ekyo kyekigambo kya Allah mu surat Nuuru:

{Bagambe nti: Mugondere Katonda mugondere n'Omubaka, Naye bwe munaaba nga mukyuse, olwo mazima kuli ku ye (okutuukiriza) ekyo kye yatikka (eky'okutuusa obubaka), era kiri ku mmwe ekyo kye mwatikkwa. Bwe muba nga mumugondedde, (munaaba) mulunngamye era tekiri ku mubaka (kirala kyonna) wabula kutuusa bubaka okweyolefu } (Nuuru 54)

وقال تعالى في السورة نفسها:

ﭧ ﭨ ﭽ وَأَقِيمُوا الصَّلَاةَ وَآتُوا الزَّكَاةَ وَأَطِيعُوا الرَّسُولَ لَعَلَّكُمْ تُرْحَمُونَ ﭼ النور: ٥٦

Era Allah nagamba mu surat y'emu:

Muyimirizeewo esswala mutoole zaka era mugongere Omubaka, oba olyawo ne musaasirwa (Nuuru 56)

وقال في سورة الأعراف:

ﭧ ﭨ ﭽ قُلۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنِّي رَسُولُ ٱللَّهِ إِلَيۡكُمۡ جَمِيعًا ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ فََٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِ ٱلنَّبِيِّ ٱلۡأُمِّيِّ ٱلَّذِي يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَكَلِمَٰتِهِۦ وَٱتَّبِعُوهُ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﭼ الأعراف: ١٥٨

Era nagamba mu surat Araaf:

Gamba (gwe Muhammadi) nti: Abange mmwe abantu! Mazima nze ndi mubaka wa Katonda ntumiddwa gye muli mwenna, (Katonda) oyo alina obufuzi bw'eggulu n'ensi. Tewali Katonda mulala wabula Ye, Alamusa n'atta, Mukkirize Katonda n'Omubaka we, Nabbi atasoma biwandiike wadde atawandiika, oyo akkiriza Katonda n'ebigambo bye era mumugoberere mulyoke mulunngame (Araaf 158)

وفي هذه الآيات الدلالة الواضحة على أن الهداية والرحمة في اتباعه -عليه الصلاة والسلام- وكيف يمكن ذلك مع عدم العمل بسنَّته أو القول بأنه لا صحة لها أو لا يعتمد عليها،

Era mu a'ya ezo mulimu obujulizi obweyolefu obulaga nti mazima obulunngamu n'okusaasira biri mu kumugoberera -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era butya ekyo bwekisoboka nga tewali kukolera ku sunnah ze oba okugamba nti mazima sintuufu oba nti tezesigamwako

وقال -عز وجل- في سورة النور:

ﭽ لَّا تَجۡعَلُواْ دُعَآءَ ٱلرَّسُولِ بَيۡنَكُمۡ كَدُعَآءِ بَعۡضِكُم بَعۡضٗاۚ قَدۡ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ يَتَسَلَّلُونَ مِنكُمۡ لِوَاذٗاۚ فَلۡيَحۡذَرِ ٱلَّذِينَ يُخَالِفُونَ عَنۡ أَمۡرِهِۦٓ أَن تُصِيبَهُمۡ فِتۡنَةٌ أَوۡ يُصِيبَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﭼ النور: ٦٣

Era Allah nagamba mu surat Nuuru: { Era bateekwa beekeke abo abaawukana ku kiragiro kye okubatuukako akabi oba ebibonyobonyo ebiruma} (Nuuru 63)

وقال في سورة الحشر:

ﭽ مَّآ أَفَآءَ ٱللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡقُرَىٰ فَلِلَّهِ وَلِلرَّسُولِ وَلِذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِ كَيۡ لَا يَكُونَ دُولَةَۢ بَيۡنَ ٱلۡأَغۡنِيَآءِ مِنكُمۡۚ وَمَآ ءَاتَىٰكُمُ ٱلرَّسُولُ فَخُذُوهُ وَمَا نَهَىٰكُمۡ عَنۡهُ فَٱنتَهُواْۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﭼ الحشر: ٧

Era nagamba mu surat Hashir

N'ekyo kyonna Omubaba (ky'abaleetera oba ky'abawa) mukitwalenga, N'ekyo ky'abagaananga, mukirengayo (mukyewalenga) (Hashir 7)

والآيات في هذا المعنى كثيرة وكلها تدل على وجوب طاعته - عليه الصلاة والسلام - واتباع ما جاء به كما سبقت الأدلة على وجوب اتباع كتاب الله والتمسك به وطاعة أوامره ونواهيه، وهما أصلان متلازمان من جحد واحدًا منهما فقد جحد الآخر وكذب به وذلك كفر و ضلال وخروج عن دائرة الإِسلام بإجماع أهل العلم والإِيمان.

Ne a'yaat endala mu makulu ago nkumu nga zonna ziraga obwetteeka bw'okumugondera -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'okugoberera ebyo bye yajja nabyo nga bwetwakirabye mu bujulizi ebwakulembedde obulaga obwetteeka bw'okugoberera ekitabo kya Allah n'okukyekwatako n'okugondera ebiragiro bye (n'okwewala) byeyaziyiza nga nabyo (Qura'an ne hadiith) bikolo bibiri bitambulira wamu tebitenngana agyemera ekimu kubyo aba agyemedde n'ekirala era nakirimbisa, ate nga obwo bukaafu nabubuze nakufuluma mu kibangirize ky'obusiraamu okusinziira ku kwegatta kwabannanyi kumanya n'obukkiriza

مما ورد في ذلك من الأحاديث عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وقد تواترت الأحاديث عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- في وجوب طاعته واتباع ما جاء به وتحريم معصيته وذلك في حق من كان في عصره وفي حق من يأتي بعده إِلى يوم القيامة،

N'obujulizi obwajja kunsonga eno mu hadiith okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era nga hadiith ezo zajja nga zigoberegana okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- mu kulaga obwetteeka bw'okumugondera n'okumugoberera mwemuli ezajja nga ziraga okuziyiza okumugyemera nabwekityo kubuli yenna kwabo abaali kumulembe gwe n'eri abo bonna abajja oluvannyuma lwe okutuusa kulunaku lw'enkomerero

ومن ذلك ما ثبت عنه في الصحيحين من حديث أبي هريرة -رضي الله عنه- أن النبي -صلى الله عليه وسلم- قال: مَنْ أَطَاعَنِي فَقد أَطَاعَ الله ومَن عَصَانِي فقد عَصَى الله

Era muzo mulimu hadiith enkakafu muswahih ebbiri (Bukhar ne Muslim) mu hadiith ya Abu hurairah -Allah yasiima kuye- nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba: "Yenna anngondera aba agondedde Allah n'oyo yenna anjemera aba ajemedde Allah"

وفي صحيح البخاري عنه -رضي الله عنه- أن النبي -صلى الله عليه وسلم- قال: كلّ أمَّتي يَدخُلونَ الجنةَ إِلا مَن أَبَى قِيلَ يا رسولَ اللهِ ومَن يَأبَى قَالَ مَن أَطَاعَني دَخَلَ الجنة ومَن عَصَاني فَقد أَبَى

Era ne muswahiih Bukhar okuva ku Abu hurairah -Allah yasiima kuye- Nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba: Abantu b'ekibiina kyange bonna bajja kuyingira e Jannah okujjako anaaba agaanye, nagambibwa Omwange Omubaka wa Allah ate ani ayinza okugaana, nagamba nti: Yenna anngondera ayingira ejjana na yenna anjemera aba agaanyi

وخرج أحمد وأبو داود، والحاكم بإِسناد صحيح عن المقدام بن معدي كرب عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- أنه قال: أَلا إٍني أوتِيتُ الكِتابَ ومِثْلَه مَعَهُ أَلا يُوشِكُ رَجلٌ شَبْعانُ على أريكَتِهِ يَقولُ عَليكمْ بِهذا القُرآنِ فَما وَجَدْتُمْ فيهِ مِن حَلال فأَحِلُّوهُ وَمَا وَجَدْتُم فيِه مِن حَرامٍ فَحَرِّمُوهُ

Era Imaam Ahmada nafulumya hadiith ne Abu dawuda, ne Al-haakim, mulunyiriri olutuufu, nga eva ku Miqidaad bun Ma-adiy karbu nga agijja ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti mazima yagamba: “Abange mazima ddala naweebwa Ekitabo wamu n'ekikifaanana, (hadiith) abange mazima kisemberedde (okusanga) omusajja omukkufu ali kukitanda kye okubagamba nti mwekuume ku Qura'an eyo kyonna kyemusaanze muyo nga kikkirizibwa mukikkirize nakyonna kyemusanze muyo nga kyaziyizibwa mukiziyize"

وخرج أبو داود، وابن ماجه بسند صحيح: عن ابن أبي رافع عن أبيه عن النبي -صلى الله عليه وسلم- قال: لا أَلْفَينَّ أَحَدَكُم مُتّكِئًا عَلى أَريكتِهِ يَأتِيهِ الأمْرُ مِن أَمْري مَمّا أَمَرْتُ بِهِ أو نَهَيْتُ عَنْهُ فَيقولُ لا ندْري، ما وَجَدْنا في كِتابِ اللهِ اتَّبَعْنَاه

Era Abu dawuda nayogera (nafulumya) hadiith, ne Ibun Maajah mulunyiriri olutuufu, nga eva ku Ibun Ubayyi Raafi-e nga agijja ku kitaawe nga agijja Ku Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagamba: Mazima ddala ekiseera kijja kujja omu mummwe asangibwe nga yesigamye/ yebase kubuliri bwe emuggire ensonga mu nsonga zange mwebyo byennalagira oba byennagaana agambe nti tetumanyi, kuba kyonna kyetwasanga mukitabo kya Allah twakigoberera

وعن الحسن بن جابر قال سمعت المقدام بن معدي كرب -رضي الله عنه- يقول: حَرّمَ رَسولُ الله -صلى الله عليه وسلم- يومَ خَيْبَر أَشْياءَ ثم قَالَ يُوشِكُ أَحَدُكُم أَن يُكذِّبَني وَهو مُتّكِئ يُحًدّث بحدِيثي فَيقولُ بَيْنَنا وَبَيْنكُم كِتابُ اللهِ فما وَجَدْنَا فِيهِ من حَلالٍ اسْتَحْلَلْنَاهُ وَمَا وَجَدْنا فيه من حَرام حَرّمْنَاهُ أَلا إِنَّ مَا حَرّمَ رسُولُ اللهِ مِثْلُ مَا حَرّمَ الله " أخرجه الحاكم والترمذي وابن ماجه بإِسناد صحيح.

Era hadiith nga eva ku Hassan bun Jaabir yagamba nawulira Al-miqidaad bun Ma-adiy al-karbi -Allah yasiima kuye- nga agamba: Yaziyiza Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ku lunaku lwa Khaibara ebintu naye ntya omu mummwe okunnimbisa nga naye yesigamye anyumya hadiith yange agambe wakati waffe newakati wammwe waliwo ekitabo kya Allah, kyonna kyetwasanga mukyo nga kikkirizibwa twakikkiriza, nakyonna kyetwasanga mukyo nga kyaziyizibwa twakiziyiza, abange mazima kyonna Omubaka wa Allah kyeyaziyiza kifaanana nekyo kyonna Allah kyeyaziyiza" Yayogerwa Al-haakimu ne Tirimith ne Ibun Maajah mulunyiriri nga lutuufu.

وقد تواترت الأحاديث عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- بأنه كان يوصي أصحابه في خطبته أن يبلغ شاهدهم غائبهم ويقول لهم ربّ مبلغ أوعى من سامع ومن ذلك ما في الصحيحين أن النبي -صلى الله عليه وسلم- لما خطب الناس في حجة الوداع في يوم عرفة وفي يوم النحر قال لهم: فليبلغ الشاهد الغائب فرب من يبلغه أوعى له ممن سمعه فلولا أن سنَّته حجة على من سمعها وعلى من بلغته، ولولا أنها باقية إِلى يوم القيامة لم يأمرهم بتبليغها، فعلم بذلك أن الحجة بالسنة قائمة على من سمعها من فيه - عليه الصلاة والسلام - وعلى من نقلت إِليه بالأسانيد الصحيحة.

Era hadiith ezenjawulo okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- zajja nga zigoberegana nti mazima Nabbi yali alaamira ba swahaaba be mu khutuba ze nti yenna awulidde atuuse kwatabaddewo, era nabagamba nti Oba olyawo atuusiddwako (ebigambo byange) abitegeera okusinga abiwulidde (buteerevu okuva kunze) Era mu hadiith ezo mulimu eri mu shahiih ebbiri nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- bwe yasomera abantu khutubah mu hijja ye eyasembayo ku lunaku lwa Arafaat nekulunaku lwa Nahali yabagamba nti: Yenna abaddewo atuuse kwataliiwo kubanga mazima oba olyawo atuusiddwako abitegeera okusinga oyo abiwulidde (butereevu okuva kunze) Singa mazima ddala sunnah ze (hadiith ze) sibujulizi oba tezesembesebwa eri oyo aziwulidde obuwulizi n'eri oyo yenna amutuusizzaako, oba era mazima ddala singa sizakusigalawo okutuusizaddala ku lunaku lwenkomerero (Nabbi) teyandibalagidde kuzituusa kubalala, nabwekityo nekimanyikwa nti mazima okwesembesa Sunnah wekuli eryoyo yenna aziwulidde butereevu okuva mukamwa ke -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'eryoyo yenne azituusiddwako munnyiriri entuufu.

وقد حفظ أصحاب رسول الله -صلى الله عليه وسلم- سنته - عليه الصلاة والسلام - القولية والفعلية وبلغوها من بعدهم من التابعين ثم بلغها التابعون من بعدهم،

Era mazima baswahaaba b'Omubaka -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- b'akuuma sunnah ze (butiribiri) ezebigambo, nezebikolwa, era nebazituusa kwabo abajja oluvannyuma lwabwe mwabo ab'abagoberera oluvannyuma lwabwe, noluvannyuma ab'abagoberera nabo nebazituusa kwabo abajja oluvannyuma lwabwe

وهكذا نقلها العلماء الثقات جيلًا بعد جيل وقرنًا بعد قرن، وجمعوها في كتبهم وأوضحوا صحيحها من سقيمها، ووضعوا لمعرفة ذلك قوانين وضوابط معلومة بينهم يعلم بها صحيح السنَّة من ضعيفها، وقد تداول أهل العلم كتب السنة من الصحيحين وغيرهما وحفظوها حفظًا تامًا كما حفظ الله كتابه العزيز من عبث العابثين وإلحاد الملحدين وتحريف المبطلين تحقيقًا لما دل عليه قوله سبحانه:

ﭧ ﭨ ﭽ إِنَّا نَحۡنُ نَزَّلۡنَا ٱلذِّكۡرَ وَإِنَّا لَهُۥ لَحَٰفِظُونَ الحجر: ٩

Era bwebatyo abamanyi abesigwa bwebazituusa okuva kumulembe ogumu okutuusa kumulembe omulala n'okuva kukyaka ekimu okutuuka kukyasa ekirala Nebazikunnganya mubitabo byabwe, era nebannyonnyola entuufu muzo nennafu Era nebassaawo emisingi egimanyiddwa egiyitwamu okwawula nokumanya entuufu muzo nennafu Era bannyini kumanya b'asasaanya ebitabo bya sunnah okuva mu swahiih ebbiri nemundala era nebazikuuma bulungi nnyo nga Allah bwakuuma ekitabo kye ekyekitiibwa obutazannyirwako muntu yenna, wadde abanoonyi okukyusaamu ekintu kyonna olwokutuukiriza ekigambo kye ekgamba nti: {Mazima Ffe twassa (Qura'an) era ddala mazima Ffe tujja okugikuuma} (Hijr 9)

ولا شك أن سنَّة رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وحي منزل، فقد حفظها الله كما حفظ كتابه وقيض الله لها علماء نقادًا، ينفون عنها تحريف المبطلين وتأويل الجاهلين ويذبون عنها كل ما ألصقه بها الجاهلون والكذابون والملحدون، لأن الله سبحانه جعلها تفسيرًا لكتابه الكريم وبيانًا لما أجمل فيه من الأحكام وضمنها أحكامًا أخرى لم ينص عليها الكتاب العزيز، كتفصيل أحكام الرضاع وبعض أحكام المواريث وتحريم الجمع بين المرأة وعمتها وبين المرأة وخالتها إِلى غير ذلك من الأحكام التي جاءت بها السنَّة الصحيحة ولم تذكر في كتاب الله العزيز.

Era teri kubuusabuusa nti mazima sunnah z'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bbibeere kuye- bubaka obwassibwa (okuva eri Allah), Mazima Allah yazikuuma nga bwakuuma ekitabo kye era Allah nazifunira abamanyi abekenneenyi obutayingiramu kukyusibwa kwabonoonyi mukuwaandiika oba mukukyusa amakulu agatali ago agagendererwamu okuva eri abo abatamanyi, era nebakijjako buli kintu kyonna abatamanyi analimba kyebakipaatikako Kubanga Allah owekitiibwa yafuula sunnah za Nabbi nga ze zivvuunula ekitabo kye ekyekitiibwa era nga ze zinnyonnyola byonna ebiba tebitegeerekese bulungi mukyo nga amateeka n'okuwa obweyamu kumateeka amalala agataayogerwako mukitabo (Qura'an) eyekitiibwa, nga okulambulula amateeka agakwata ku kuyonsa namateeka amalala agakwata ku by'obusika, n'okuziyiza okugatta wakati w'omukyala ne senga we, newakati w'omukyala ne maama we omuto mubufumbo obumu, n'amateeka amalala mwago sunnah entuufu zegajja nago nga tegaayogerwa mu kitabo kya Allah ekyekitiibwa

ومما ورد في ذلك عن الصحابة والتابعين ومن بعدهم من أهل العلم ذكر بعض ما ورد عن الصحابة والتابعين ومن بعدهم من أهل العلم في تعظيم السنة ووجوب العمل بها..

في الصحيحين عن أبي هريرة -رضي الله عنه- قال: لما توفي رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وارتد من ارتد من العرب قال أبو بكر الصديق -رضي الله عنه-: والله لأقاتلن من فرق بين الصلاة والزكاة. فقال له عمر -رضي الله عنه-: كيف تقاتلهم وقد قال النبي -صلى الله عليه وسلم-: أمِرْتُ أَنْ أقَاتِلَ النَّاسَ حَتى يَقُولُوا لا إِلهَ إِلا الله فَإِذا قَالوها عَصَمُوا مِني دِمَاءَهُم وَأَموَالَهُم إِلا بحقَّها فقال أبو بكر الصديق: أليست الزكاة من حقها والله لو منعوني عناقًا كانوا يؤدونها إِلى رسول الله -صلى الله عليه وسلم- لقاتلتهم على منعها. فقال عمر -رضي الله عنه-: فما هو إِلا أن عرفت أن الله قد شرح صدر أبي بكر للقتال فعرفت أنه الحق،

Era (obujulizi kunsonga eno) by'ebimu kwebyo ebyajja okuva ku ba swahaaba n'abo abaabagoberera n'abajja oluvannyuma lwabwe mubanannyini kumanya Ebimu kubyayogerwa okuva ku ba swahaabah n'abo abaabagoberera n'abaabaddira mubigere mubananyini kumanya mukugulumiza sunnah n'obwetteeka ku kuzikolerako mu swahiihi ebbiri okuva ku Abu hurairah -Allah yasiima kuye- yagamba: Mukiseera Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga amaze okufa, abamu kubawalabu bakyuka nebava mubusiraamu, Abubakar swiddiq -Allah yasiima- kuye nagamba: "Wallahi (mbalayirira Allah) nja kulwanyisiza ddala oyo yenna ayawula wakati w'eswalah ne zakah" Umar -Allah yasiima kuye- kyava amugamba nti: Butya bw'obalwanyisa nga Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- mazima yagamba: "Nalagirwa okulwanyisa abantu (abatakkiriza) okutuusa nga bayatudde nebagamba nti "Teri musinzibwa mulala yenna mubutuufu okujjako Allah" bwebakyogera gikuumibwa kunze emisaayi gyabwe nemmaali zabwe okujjako mumazima. Abubakar swiddiiq namugamba nti: Abaffe zakkah teri mwebyo ebyamazima ebivunaanyizibwa kubo, mbalayirira Allah singa bagaana okumpa omuguwa nga baali kumulembe gwa Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- baleeta ensolo n'omuguwa gwayo nja kubalwanyisa Umar -Allah yasiima kuye- nagamba nti: Kw'olwo lwennamanya nti Allah yali ayanjululizza Abubakar ekifuba kye okubalwanyisa ne manya nti ago gemazima.

وقد تابعه الصحابة - رضي الله عنهم - على ذلك فقاتلوا أهل الردة حتى ردوهم إِلى الإِسلام وقتلوا من أصر على ردته، وفي هذه القصة أوضح دليل على تعظيم السنَّة ووجوب العمل بها،

Era mazima ba swahaabah -Allah yasiima kubo- baamugoberera mwekyo nebalwanyisa abaali bakyuse nebava mubusiraamu okutuusa lwe baabazza mu busiraamu nebatta yenna eyalemerayo mubukaafu Era mukyafaayo kino mulimu obujulizi obweyolefu mukugulumiza sunnah n'obwetteeka bw'okuzikolera ko

وجاءت الجدة إِلى الصديق -رضي الله عنه- تسأله عن ميراثها فقال لها: وفي هذه القصة أوضح دليل على تعظيم السنَّة ووجوب العمل بها، وجاءت الجدة إِلى الصديق -رضي الله عنه- تسأله عن ميراثها فقال لها: ليس لك في كتاب الله شيء ولا أعلم أن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- قضى لك بشيء وسأسأل الناس ثم سأل -رضي الله عنه- الصحابة فشهد عنده بعضهم بأن النبي -صلى الله عليه وسلم- أعطى الجدة السدس قضى لها بذلك،

Era Jajja (mukyala) yajja eri Abubakar -Allah yasiima kuye- nga amubuuza kumugabo gw'obusika bwe (Abubakar) namugamba nti: Tolina mugabo gwonna gwakuweebwa mu kitabo kya Allah era mazima sikimanyi nti Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bbibeere kuye- alina omugabo gwonna gweyakugerekera, nabuuza abantu oluvannyuma -Allah yasiima kuye- nabuuza baswahaaba kunsonga eyo, nebajulira kuye abamu kubo nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yawa jajja omukyala kimu kya mukaaga, bwatyo ne Abubakar namuwa ekyo.

وكان عمر -رضي الله عنه- يوصي عماله أن يقضوا بين الناس بكتاب الله فإِن لم يجدوا القضية في كتاب الله فبسنَّة رسول الله -صلى الله عليه وسلم-

Ate era ne Umar -Allah yasiima kuye- yali alaamira abasigire be okulamula wakati w'abantu n'ekitabo kya Allah, ate ensonga bwebatagisanga mukitabo kya Allah balamuze Sunnah z'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bbibeere kuye

ولما أشكل عليه حكم إِملاص المرأة وهو إِسقاطها جنينًا ميتًا بسبب تعدي أحد عليها سأل الصحابة - رضي الله عنهم - عن ذلك فشهد عنده محمد بن مسلمة والمغيرة بن شعبة - رضي الله عنهما - بأن النبي -صلى الله عليه وسلم- قضى في ذلك بغرة عبد أو أمة فقضى بذلك -رضي الله عنه-.

Era bwe yakalubirizibwa ku nnamula y'omukyala akoseddwa (omuntu omulala) n'avaamu olubuto, abaffe afuuse ensonga y'olubuto okuvaamu awa mutango ki, yabuuza baswahaabah -Allah yasiima kubo- kwekyo, n'ajulira kuye Muhammadi bun Masiramah ne Mughiira bun shuubah -Allah yasiima kubo bombiriri- nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yalamula kuye okuwa omutango gwa kuta muddu oba omuzaana owebbeeyi (eyenkana kimu kyakkumi ky'omuntango gw'omukyala avuddemu olubuto oba kimu kya kkumi kyomuwendo gw'omutango gwa taata w'omwana avuddemu) naye nalamula bwatyo -Allah yasiima kuye-

ولما أشكل على عثمان -رضي الله عنه- حكم اعتداد المرأة في بيتها بعد وفاة زوجها وأخبرته فريعة بنت مالك بن سنان أخت أبي سعيد - رضي الله عنها - أن النبي -صلى الله عليه وسلم- أمرها بعد وفاة زوجها أن تمكث في بيته حتى يبلغ الكتاب أجله قضى بذلك -رضي الله عنه-. وهكذا قضى بالسنَّة في إِقامة حد الشرب على الوليد بن عقبة،

Era ne Uthmaan -Allah yasiima kuye- bweyakalubirizibwa kunnamula y'ebbanga omukyala lyamala munyumba nga akungubagira bba nga afudde, yamubuulira Farii-a bint Maalik bun Sinaan mwannyina wa Sa-eed -Allah yasiima kuye- nti mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yamulagira oluvannyuma lw'okufiirwa bba okusigala munnyumba okutuusa nga idda ye eweddeko (emyezi ena ne naku kumi) naye n'alamula bwatyo -Allah yasiima kuye- Era bwatyo bweyalamuza sunnah mukuyimirizaawo ekibonerezo ky'okunywa omwenge ku Waliid bun Uqubah

ولما بلغ عليًّا -رضي الله عنه- أن عثمان -رضي الله عنه- ينهى عن متعة الحج أهل علي -رضي الله عنه- بالحج والعمرة جميعًا وقال لا أدع سنَّة رسول الله -صلى الله عليه وسلم- لقول أحد من الناس،

Era Ali -Allah yasiima kuye- amawulire bwegaamutuukako nti Uthmaan -Allah yasiima kuye- agaana abantu okkola hijja yattamattu-u, yanuyirira hijja ne Umra omulundi gumu (tamattu-u mukugoberera sunnah) nagamba nti siyinza kuleka sunnah ya Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- olw'ekigambo ky'omu mubantu

ولما احتج بعض الناس على ابن عباس - رضي الله عنهما - في متعة الحج بقول أبي بكر وعمر - رضي الله عنهما - في تحبيذ إِفراد الحج قال ابن عباس يوشك أن تنزل عليكم حجارة من السماء أقول: قال رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وتقولون قال أبو بكر وعمر،

فإِذا كان من خالف السنَّة لقول أبي بكر وعمر تخشى عليه العقوبة فكيف بحال من خالفها لقول من دونهما أو لمجرد رأيه واجتهاده،

Era abantu abamu bwebajja ewa Ibun Masuud -Allah yasiima kuye- nebeesembesa ebigambo bya Abubakar ne Umar -Allah yasiima kubo bombiriri- mukugaana hijja ya tammattu-u, olw'okwagaza abantu okukola hijja ya Ifraadi Ibun Abbaasi yabagamba nti: Ntya gyemuli okussibwako amayinja okuva muggulu, mbagamba nti: Yagamba Omubaka wa Allah, ate nemungamba nti yagamba Abubakar ne Umar

Bwekiba nti ayawukanye ku sunnah ya Nabbi olw'ekigambo kya Abubakar ne Umar atiiririrwa okussibwako ekibonerezo ate kiri kitya kwoyo ajawukanako olw'ekigambo ky'oyo ali wansi waabwe oba olw'endowooza ye n'okunyinkira kwe

ولما نازع بعض الناس عبد الله بن عمر -رضي الله عنهما- في بعض السنة قال له عبد الله: هل نحن مأمورون باتباع عمر أو باتباع السنة؟

Era abantu abamu bwebaakayanya Abdallah bun Umar -Allah yasiima kuye- ku sunnah ezimu, Abdallah yabagamba nti: Abaffe twalagirwa kugoberera Umar oba kugoberera Sunnah?

ولما قال رجل لعمران بن حصين، رضي الله عنهما: حدثنا عن كتاب الله وهو يحدثهم عن السنة غضب -رضي الله عنه- وقال: إِن السنَّة هي تفسير كتاب الله ولولا السنَّة لم نعرف أن الظهر أربع والمغرب ثلاث والفجر ركعتان ولم نعرف تفصيل أحكام الزكاة إِلى غير ذلك مما جاءت به السنة من تفصيل الأحكام،

Era omusajja bweyagamba Umraan bun Huswain -Allah yasiima kubo bombiriri- nti yatunyumiza ku kitabo kya Allah nga ate ye abanyumiza ku sunnah yanyiiga -Allah yasiima kuye- nagamba nti: mazima sunnah yennyonnyola ekitabo kya Allah, era singa si sunnah tetwanditegedde nti mazima dhuhr erina raka'a nnya, ne magarib erina raka'a satu, ne Fajr erina raka'a bbiri, era tetwanditegedde mubulambulukufu mateeka ga zakah n'amateeka amalala sunnah zegannyonnyola mubulambulukufu

والآثار عن الصحابة - رضي الله عنهم - في تعظيم السنَّة ووجوب العمل بها والتحذير من مخالفتها كثيرة جدًّا،

ومن ذلك أيضًا أن عبد الله بن عمر – رضي الله عنهما - لما حدَّث بقوله -صلى الله عليه وسلم- لا تَمْنَعُوا إِمَاءَ اللهِ مَسَاجِدَ اللهِ قال بعض أبنائه: والله لنمنعهن فغضب عليه عبد الله وسبه سبًّا شديدًا وقال: أقول قال رسول الله وتقول والله لنمنعهن،

n'ebigambo bya baswahaaba -Allah yasiima kubo- ebirala bingi ku gulumiza sunnah n'obwetteeka bw'okuzikolera ko, n'okwekesa akabi akali mukuzaawukana ko

n'ebimu kubyo era, kwekuba nti mazima Abdallah bun Umar -Allah yasiima kubo bombiriri- bweyanyumya ekigambo kya Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- "Temugaana bazaana ba Allah, mizikiti gya Allah" Omu kubatabani be nagamba nti wallahi (ndayira Allah) tujja kubagaana, Abdallah bun Umar yanyiiga namuvuma oluvuma olwamanyi nagamba nti: Nkugamba nti Omubaka wa Allah yagamba ate n'ogamba wallahi tujja kubagaana,

ولما رأى عبد الله بن المغفل المزني -رضي الله عنه- وهو من أصحاب رسول الله -صلى الله عليه وسلم- بعض أقاربه يخذف نهاه عن ذلك, وقال له إِن النبي -صلى الله عليه وسلم- نهى الخذف وقال إٍنه لا يصيد صيدًا ولا ينكأ عدوا ولكنه يكسر السن ويفقأ العين ثم رآه بعد ذلك يخذف فقال والله لا كلمتك أبدًا أخبرك أن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- ينهى عن الخذف ثم تعود؟

Era bweyalaba Abdallah bun Mugaffaru -Allah yasiima kuye- nga naye omu kuba swahaaba b'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- omu ku b'oluganda be nga akanyuga amayinja nebutida (okkuba sabbaawa) yakimugaana namugamba nti mazima omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- "Yagaana okukanyuga amayinja nagamba nebutita nti mazima yo teyigga kintu kyonna wadde okukosa omulabe wabula okuwangulamu erinnyo oba oktundulamu eriiso, Naye oluvannyuma namulaba nga agikuba namugamba nti. wallahi sigenda kuddamu kwogera naawe nakugamba nti Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- yagaana okukanyuga amayinja ate noddamu

وأخرج البيهقي عن أيوب السختياني التابعي الجليل أنه قال: إذا حدثت الرجل بسنَّة فقال دعنا من هذا، وأنبئنا عن القرآن فاعلم أنه ضال،

Baihaqi yayogera hadiith nga eva ku Ayyubu al-ssikhatiyaani omu kubataabi-e abakukunavu nti mazima yagamba: Singa onyumiza omuntu hadiith nakugamba nti "tulekese naawe" tubuulire ku Qura'an manya nti mazima mubuze

وقال الأوزاعي -رحمه الله- السنَّة قاضية على الكتاب أو تقييد ما أطلقه أو بأحكام لم تذكر في الكتاب كما في قول الله سبحانه:

ﭽ بِالْبَيِّنَاتِ وَالزُّبُرِ ۗ وَأَنْزَلْنَا إِلَيْكَ الذِّكْرَ لِتُبَيِّنَ لِلنَّاسِ مَا نُزِّلَ إِلَيْهِمْ وَلَعَلَّهُمْ يَتَفَكَّرُونَ ﭼ النحل: ٤٤

Ate Awuzaa-ie -Allah amusaasire- yagamba sunnah yelambika Qura'an oba y'ekomeka ekyo kyeyaleka nga tekikomese oba okwogera amateeka Qura'an getaayogera nga Allah bweyagamba nti: {Era twassa gy'oli ekyokujjukiza (Qura'an) olyoke onnyonnyole abantu ekyo ekyassibwa gyebali, era oba olyawo ne balowooza} (Nahali 44)

وسبق قوله -صلى الله عليه وسلم- أَلا إِني أوتِيتُ الكِتابَ ومثلَه مَعَهُ

Era twalabye gyebuvuddeko ekigambo kya Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ekigamba nti: "Abaffe mazima naweebwa Ekitbo wamu nekikifaanana"

وأخرج البيهقي عن عامر الشعبي -رحمه الله- أنه قال لبعض الناس: إِنما هلكتم في حين تركتم الآثار. يعني بذلك الأحاديث الصحيحة،

Era Baihaqi yayogera hadiith nga eva ku Amir al-sha-abiy -Allah amusaasire- nti mazima yagamba abantu abamu: "Mazima mwazikirira mukiseera wemwalekera obuwufu (hadiith)" nga ategeeza mwekyo Hadiith entuufu.

وأخرج البيهقي أيضًا عن الأوزاعي -رحمه الله- أنه قال لبعض أصحابه إِذا بلغك عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- حديث فإِياك أن تقول بغيره فإن رسول الله كان مبلغًا عن الله تعالى.

Era Baihaqi nayogera hadiith nga eva ku Al-awuzaa-ie -Allah amusaasire- mazima yagamba omu ku baswahaba be nti mazima singa otukibwabo hadiith okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nkwekesa okwesembesa oba okukolera ku kitali yo, kubanga mazima Omubaka wa Allah yali atuusa kuva eri Allah owekitiibwa

وأخرج البيهقي عن الإِمام الجليل سفيان بن سعيد الثوري -رحمه الله- أنه قال إِنما العلم كله العلم بالآثار،

Era Baihaqi yayogera hadiith eva ku Imaam omukukunavu Sufiyaan bun Sa-eed Al-thawuriy -Allah amusaasire- nti mazima yagamba nti: Mazima okumanya kwonna kuli mu hadiith entuufu

وقال مالك -رحمه الله- ما منا إِلا راد ومردود عليه إِلا صاحب هذا القبر وأشار إِلى قبر رسول الله -صلى الله عليه وسلم-

Ne Maalik -Allah amusaasire- yagamba nti: Teri n'omu muffe okujjako nga ekigambo kye kisobola okumuddizibwa okujjako ekigambo kya nannyini ntaana eyo n'alaza eri entaana y'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye-

وقال أبو حنيفة، رحمه الله: إِذا جاء الحديث عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- فعلى الرأس والعين

Imaam Abu Haniifa -Allah amusaasire- yagamba "Singa hadiith yonna ejja okuva ku Mubaka wa Allah - okusaasira n'emirembe bibeere kuye- gyenkulembeza kukilala kyonna"

وقال الشافعي، رحمه الله: متى رويتُ عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- حديثًا صحيحًا فلم آخذ به فأشهدكم أن عقلي قد ذهب.

Imaam Shafie -Allah amusaasire- yagamba: "Wonna wenjogerera okuva ku Mubaka wa Allah- hadiith yonna entuufu ate nesigikolerako mbakakasa nti amagezi gange gaba gagenze.

وقال أيضًا -رحمه الله- إِذا قلتُ قولا وجاء الحديث عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- بخلافه فاضربوا بقولي الحائط،

Era -Allah amusaasire- yagamba: "Singa njogera ekigambo kyonna, hadiith nejja nga eva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nga ekyawukanako, ekigambo kyange mukikanyuge kukisenge (mukireke mutwale ekya Nabbi)

وقال الإِمام أحمد بن حنبل -رحمه الله- لبعض أصحابه: لا تقلدني ولا تقلد مالكًا ولا الشافعي وخذ من حيث أخذنا،

Imaam Ahmada bun hambali -Allah amusaasire- yagamba abamu ku bayizi be nti: "Tokoppa nze, era tokoppa Imaam Maalik, wadde Imaam Shafie wabula kwata naffe wetujja (hadiith za Nabbi)"

وقال أيضًا، رحمه الله: عجبتُ لقوم عرفوا الإِسناد وصحته عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- يذهبون إِلى سفيان والله سبحانه يقول:

ﭽ لَّا تَجْعَلُوا دُعَاءَ الرَّسُولِ بَيْنَكُمْ كَدُعَاءِ بَعْضِكُم بَعْضًا ۚ قَدْ يَعْلَمُ اللَّهُ الَّذِينَ يَتَسَلَّلُونَ مِنكُمْ لِوَاذًا ۚ فَلْيَحْذَرِ الَّذِينَ يُخَالِفُونَ عَنْ أَمْرِهِ أَن تُصِيبَهُمْ فِتْنَةٌ أَوْ يُصِيبَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ ﭼ النور: ٦٣

قال أتدري ما الفتنة؟ الفتنة الشرك لعله إِذا رد بعض قوله - عليه الصلاة والسلام - أن يقع في قلبه شيء من الزيغ فيهلك،

Era -Allah amusaasire yagamba: "Newuunya abantu abamu abamanya olunyiriri lwa hadiith nga ntuufu okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- ate nebagenda ewa Sufiyaan, ate nga Allah owekitiibwa yagamba:

{ Era bateekwa beekeke abo abaawukana ku kiragiro kye okubatuukako akabi oba ebibonyobonyo ebiruma} (Nuuru 63)

Nagamba nti abage mumanyi effitina (ekikemo) kye ki Effitina kwe kugatta ku Allah n'ekintu ekirala kyonna (shirik) oba olyawo bwazzaayo ebimu kubigambo bye -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- afuna mu mutima gwe enkenyera oba okuseerera nafundikira nga azikiridde

وأخرج البيهقي عن مجاهد بن جبر التابعي الجليل أنه قال في قوله سبحانه: ﭽ ﰀ ﰁ ﰂ ﰃ ﰄ ﰅ ﰆ ﰇ ﰈ ﰉ ﰊ ﰋ ﰌ ﰍﰎ ﰏ ﰐ ﰑ ﰒ ﰓ ﭼ النساء: ٥٩

قال: الرد إِلى الله إِلى كتابه والرد إِلى الرسول الرد إِلى السنَّة،

Era Baihaqi yayogera hadiith eva ku Mujaahid bun Jubar omu ku ba taabi-ie abakukunavu yagamba ku tteeka lya Allah erigamba nti: {Bwe mubanga mukaayanye mu kintu, mukizzenga eri Allah n'Omubaka we}

Yagamba nti okuzzaayo eri Allah kitegeeza kudda eri Ekitabo kye, ate okuzzaayo eri Omubaka kitegeeza kudda eri Sunnah / hadiith

وأخرج البيهقي عن الزهري -رحمه الله- أنه قال: كان من مضى من علمائنا يقولون الاعتصام بالسنَّة نجاة،

Era Baihaqi yayogera hadiith eva ku Zuhuri -Allah amusaasire- yagamba nti: Baali ab'atusooka mu bamanyi baffe bagamba nti "okwekwata ku sunnah kwekuwona"

وقال موفق الدين بن قدامة -رحمه الله- في كتابه روضة الناظر: في بيان أصول الأحكام ما نصه: والأصل الثاني من الأدلة سنة رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وقول رسول الله -صلى الله عليه وسلم- حجة لدلالة المعجزة على صدقه وأمر الله بطاعته وتحذيره من مخالفة أمره

Muwaffaq ddiini Ibun Qudaama -Allah amusaasire- yagamba mukitabo kye Rawudhat nnaadhiri mu kunnyonnyola ebikolo by'amateeka mubigambo bye nti: N'ekikolo ekyokubiri mubujulizi okuva mu sunnah z'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- n'ekigambo: Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- bujulizi obulaga ekyamagero kyamazimage n'ekiragiro kya Allah okumugondera n'okwekesa kwe okumwawukana ko.

وقال الحافظ ابن كثير -رحمه الله- في تفسير قوله تعالى: ﭽ ﰀ ﰁ ﰂ ﰃ ﰄ ﰅ ﰆ ﰇ ﰈ ﰉ ﰊ ﰋ ﰌ ﰍﰎ ﰏ ﰐ ﰑ ﰒ ﰓ ﭼ النساء: ٥٩

أي عن أمر رسول الله -صلى الله عليه وسلم- وهو سبيله ومنهاجه وطريقته وسنَّته وشريعته فتوزن الأقوال والأعمال بأقواله وأعماله فما وافق ذلك قبل وما خالفه فهو مردود على قائله وفاعله كائنًا من كان،

Era Haafith Ibun Kathiir -Allah amusaasire yagamba mutafusiiri ye mukunnyonnyola etteeka lya Allah eri gamba nti: {Bekeke abo abaawukana ku kiragiro kye, okutuusibwako ekikemo oba okutuusibako ebibonyobonyo ebiruma}

Amakulu (okwawukana) ku kiragiro ky'Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- era nga ly'ekkubo lye n'enkola ye ne sunna ze namateeka ge bigerageranyizibwa (bipimibwa) ebigambo n'emirimu (gyaffe) ku bigambo bye -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- kyonna ekikwatagana nebibye kikkirizibwa (kitwalibwa) nakyonna ekibyawukanako kiddizibwa nannyini kyo akyogedde nakikoze k'abaani yenna

كما ثبت في الصحيحين وغيرهما عن رسول الله -صلى الله عليه وسلم- أنه قال: مَنْ عَمِلَ عَمَلًا ليسَ عَليهِ أَمْرُنا فَهُوَ رَدّ"

أي فليخشى وليحذر من خالف شريعة الرسول باطنًا وظاهرًا: أَنْ تُصِيبَهُمْ فِتْنَةٌ أي في قلوبهم من كفر أو نفاق أو بدعة أَوْ يُصِيبَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ أي في الدنيا بقتل أو حد أو حبس أو نحو ذلك،

nga era bwekyakakata mu swahiih ebbiri (eya Bukhar ne Muslim) nendala okuva ku Mubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- mazima yagamba nti: Omuntu yenna akola omulimu nga teguliiko ndagiriro yaffe gumuddizibwa" (Tegukkirizibwa) Amakulu abaffe atye era yekeke yenna yawukana ku mateeka g'Omubaka kungulu oba munda okutuusibwako ebikemo. Amakulu: Okutuusibwako ebikemo mu mitima gyabwe obukaafu oba obunnaanfuusi, oba okuzuula mu ddiini (bidi-a) Oba okutuusibwako ebibonyobonyo ebiruma (ebikakali) Amakulu: kuno kunsi, nga battibwa oba okusibwa, nebirala ebiringa ebyo

كما روى الإِمام أحمد حدثنا عبد الرزاق حدثنا معمر عن همام بن منبه قال: هذا ما حدثنا أبو هريرة، قال: قال رسول الله -صلى الله عليه وسلم-: مثَلي وَمثَلُكمْ كمَثَلِ رجلٍ اسْتَوْقَدَ نارًا فَلمّا أَضَاءَتْ مَا حَوْلَهَا جَعَلَ الفراشُ وهَذِهِ الدّوابُّ اللائِي يَقَعْنَ في النَّار يَقَعْنَ فِيهّا وَجَعَلَ يَحْجُزُهُنّ وَيَغْلِبْنَهُ فَيَقْتحِمْنَ فِيَها قَالَ فَذَلِك مَثَلي وَمَثَلَكمْ أَنا آخُذُ بحَجْزِكُم عَن النَّار هَلُمّ عَن النارِ فَتَغْلِبُوني وَتقْتَحِمُونَ فِيهَا " أخرجاه من حديث عبد الرزاق.

nga era Imaam Ahmada bweyagamba nti: yatunyumiza Abdul razaaq, yatunyumiza Ma-amar bun Hishaamu bun Minbah hadiith nagamba: ebyo bweyatunyumiza Abu hurairah, yagamba: Yagamba Omubaka wa Allah -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- nti: Eky'okulabirako kyange nammwe kiringa omusajja eyakuma omuliro, bwegwamala okumulisa byonna ebigwetoolodde, byatandika ebiwojjolo n'amayanzi okugwa mu muliro natandika okubitangira obutagwamu naye nga bimwesimattulako nebigwamu, nagamba nange bwekyo bwenfaanana gyemuli mbakwata kubikondoolo obutagwa mu muliro naye temunnesimattulako nemugwa mu muliro" Bagyogera bombiri (Bukhar ne Muslim) okuva mu hadiith ya Abdul razzaaq

وقال السيوطي -رحمه الله- في رسالته المسماة مفتاح الجنة في الاحتجاج بالسنة ما نصه: اعلموا -رحمكم الله- أن من أنكر أن كون حديث النبي -صلى الله عليه وسلم- قولًا كان أو فعلًا بشرطه المعروف في الأصول حجة كفر وخرج عن دائرة الإِسلام وحشر مع اليهود والنصارى أو مع من شاء الله من فرق الكفرة

Ate ye Ssuyuutwi -Allah amusaasire yagamba- mukitabo kye ekiyitibwa "Ekisumuluzo kyejjana mukwesembesa sunnah" mubigambo bye bwati: Mukimanye -Allah abasaasire- nti yenna atamwa okuba nti mazima hadiith za Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere kuye- zibe zabigambo oba bikolwa nga zituukirizza obukwakkulizo bwazo obumannyiddwa (amakulu nga ntuufu) (naye ye natamwa okuba nti) zesembesebwa nazo nga obujulizi akimanye nti akaafuwala olwekyo era n'afuluma mu kibangirize ky'Obusiraamu era nazuukizibwa n'Abayudaaya n'Abakulisataayo oba nooyo yenna Allah gwaliba ayagadde okuva mukibinja ky'abakaafu

والآثار عن الصحابة والتابعين ومن بعدهم من أهل العلم في تعظيم السنَّة ووجوب العمل بها والتحذير من مخالفتها كثيرة جدًّا

N'ebyokulabirako okuva ku baswahaaba ne bataabi-ien n'abo abajja oluvannyuma lwabwe muba nannyini kumanya ebikwata ku kugulumiza sunnah n'obwetteeka bw'okuzikolerako n'okwekesa okuzaawukana ko biyitirivu nnyo

وأرجو أن يكون في ما ذكرنا من الآيات و الأحاديث والآثار كفاية ومقنع لطالب الحق ونسأل الله لنا ولجميع المسلمين التوفيق لما يرضيه والسلامة من أسباب غضبه، وأن يهدينا جميعًا صراطه المستقيم إِنه سميع قريب. وصلى الله وسلم على عبده ورسوله نبينا محمد وعلى آله وأصحابه وأتباعه بإحسان. عبد العزيز بن عبد الله بن باز رحمه الله

Kansuubire nti bye twogeddeko mu a'yaat ne hadiith, nebigambo bya baswahaba bimala era bimatiza eryoyo yenna anoonya amazima Tusaba Allah n'eri abasiraamu bonna atugondeze okukola byasiima era atuwonye byonna ebiyinza okutuusa eri obusungu bwe era atulunngamye fenna wamu eri ekkubo lye eggolokofu mazima ye ali kumpi nnyo era awulira Nsaba Allah asse ebyengera nemirembe ku mudduwe era Omubakawe Nabbi waffe Muhammadi n'abantu bennyumba ye ne kuba swahaaba be n'abo bonna ababagoberera mukukola obulungi (Kyawandikiibwa) Abdallah bun Abdul aziiz bun Baazi Allah amusaasire.

معلومات المادة باللغة العربية